Abadde omubaka wa parliament ng’akiikirira Kawempe North Muhammad Ssegiriinya aziikiddwa ku kyalo Butale – Kanyogoga mu muluka gwe Kaddugala mu district ye Masaka mu ssaza Buddu.
Owek. Noah Kiyimba minister wa cabinent n’olukiiko nga yaakikiridde Obwakabaka ategeezezza nti ku mulembe guno Kabaka gwe yakwasa abavubuka, kikwasa ennaku okulaba ng’abavubuka ab’ensonga nga Ssegiriinya bw’abadde bafiira ku myaka emitono ddala.
Agambye nti wadde Ssegiriinya afiiridde ku myaka mimpi ddala, kyokka ayigirwako ebintu bingi naddala omuli obumalirivu bw’ayolesezza mu buweereza bwe ku mitendera gy’obukulembeze gy’akoleddemu.
Okuziika Ssegiriinya kwetobeseemu okusika omuguwa wakati wa bannakibiina kya NUP abakulembeddwamu president wabwe Robert Kyagulanyi baasazeewo okukungaanira mu luggya lwa kitaawe wa Ssegiriinya wadde wabadde wafunda, so ng’oludda lwa parliament olukulembeddwamu Commissioner wa parliament era Omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga Nsamba babadde basazeewo okukungaanira mu kisaawe ekiriranyeewo ewabadde awagazi.
Gyebigweredde ng’aba NUP balemesezza ab’oludda lwa parliament okutwala omulambo ku kisaawe, ekitadde ab’oluganda lw’omugenzi mu kusoberwa.
Maama atuuse n’okwegayirira aba NUP bakkirize omulambo gutwalibwe mu kisaawe ewabadde wategekeddwa emikolo gy’okukungubagira mutabani we ng’abadde omubaka, wabula tewabadde amuwuliriza.
Maama alabye bimusobedde kwekusigala awaka awabadde omulambo gwa mutabani we , wabula neyebaza Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba okukulemberamu kaweefube yenna abadde akolebwa okujanjaba mutabaniwe, ate Abaana saako ab’oluganda ne mukyala wa Ssegiriinya babadde ku kisaawe, nebeebaza parliament olw’okujjanjaba Ssegiriinya.
Owek.Mathias Mpuuga Nsamba, asinzidde eno n’agugumbula aba Nup olw’empisa ensiwuufu ezokuwamba omulambo gwa Ssegiriinya, nebamulemesa okumukungubagira mu kitiibwa ekisaanidde ng’abadde omubaka wa parliament.
Bannaddiini ababadde ku mukolo guno nga bakulembeddwamu Imaam w’omuzikiti gw’eButale Sheikh Abud-Rashid Wasajja basazeewo basaalire omulambo gwa Ssegiriinya wadde tegubaddeewo, era olumalirizza police ekulembeddemu okuyimba ennyimba z’eggwanga, n’abakungubazi nebaabuka okudda ewaabwe.
President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu agugumbudde government gy’agambye nti ekoze buli kimu okutabulatabula ab’oludda olugivuganya, n’agamba nti wabula nabo sibakuweera.
Ssegiriinya Muhammad yafiiridde ku myaka 37 egy’obukulu mu ddwaliro e Lubaga nga 09 January,2025.
Okufa kwe nakwo kwasoose kubaamu matankane, maama w’omwana bweyabikidde akulira oludda okuvuganya government mu parliament Joel Ssenyonyi naye nategeeza ab’amawulire.
Wabula oluvannyuma abakulu mu ddwaliro olwabiwulidde nebategeeza nti yabadde tannafa, nti wadde ebitundu ebisiinga eby’omubiri byabadde bifudde okuli n’obwongo, wabula baabadde bakyalina entunnunsi zebaabadde bakyawulira.
Basooka kumubikanl eddwaliro nebibiwakanya.#