Ssabawolereza wa gavumenti ya Uganda Kiryoowa Kiwanuka abuulidde palament nti gavument tenalemererwako kusasula bbanja ery’obuwumbi 700 eryewolebwa mu Exim Bank eya China, okugaziya ekisaawe ky’ennyonyi ekya Entebbe International Airport nti n’ekiseera ekyawebwa okutandika okusasula tekinatuuka.
Kiryoowa Kiwanuka abadde alabiseeko mu kakiiko ka palament akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavument aka COSASE akakulemberwa Joel Ssenyonyi omubaka wa Nakawa West,nga yayitiddwa okutangaaza ku ndagaano eyatadde eggwanga ku bunkenke eyinza okuviirako China okwezza ekisaawe ky’ Entebbe.
Agambye nti ebigambibwa nti ekisaawe kyatwaliddwa China bifu, nti era n’ensimbi ezewolebwa okugaziya ekisaawe kino ebbanga lyokutandika okuzisasula eri exim Bank terinatuuka, Uganda yakutandika okulisasula ng’ennaku z’omwezi 01.04 omwaka ogujja 2022.
Akkiriza nti kituufu abakulu mu kitongole kya Uganda Civil Aviation Authority baliko ezimu ku nnyingo mu ndagaano eyakolebwa ne bank ya Exim okwewola ensimbi zebaali beraliikirira, nti singa tezikyusibwamu ekisaawe kibeera mu lusuubo.
Agambye nti wabula ennyingo zino bweyazeetegerezza yazuula nti tezirina buzibu bwonna era yawandiikira Uganda Civil Aviation Authority okubalungamya ku nsonga eno.
Kiryoowa Kiwanuka wabula ate yewuunyisiza ababaka bwagambye nti endagaano eno eyakolebwa mu kwewola ensimbi nti ssi mbi naye ate ssi yennungi nnyo , ekiretedde omubaka wa Kawempe North Bashir Mbaziira okumussa kunninga anyonyole endagaano embi kyeteegeza neeyo etali nnungi nnyo kyetegeeza
Kiryoowa oluvanyuma yefudde n’agamba nti endagaano eno talaba buzibu bwonna bwerina, era Uganda ejja kusobola okugituukiriza.
Ssabawolereza Kiryoowa Kiwanuka ku nsonga ya Escrew account eyateekebwa mu ndagaano eno nti kwekukunganyizibwa ensimbi eziva mu kisaawe, agambye nti kituufu account eno weeri yassibwawo era Uganda civil aviation authority ne Exim Bank begivunaanyizibwako bombi nti era ebadde etambuzibwa bulungi.