Ssaabasumba Paul Ssemogerere ajaguzza omwaka mulamba bukyanga atuuzibwa ku ntebe y’Obwassabasumba bwa Kampala.
Ssaabasumba Ssemogerere yatuuzibwa nga 25 January 2022 mu lutikko e Lubaga.
Yadda mu bigere bya Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga.
Bw’abadde ayigiriza mu Mmisa y’okujaguza nga bweguweze omwaka mulamba ng’atuuziddwa nga Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Bishop Paul Ssemogerere agambye nti yeyongedde okunywera mu buweereza, ng’atambulira ku mulamwa ogw’okuzimba Klezia Wakatonda.
Ssaabasumba mu ngeri yeemu asabye president Museven ne bannakibiina kye bonna nti nga bajaguza emyaka 37 bukyanga bakwata nkasi ya ggwanga lina, nabo balina okujjukira omulamwa omutuufu kwebajjira ogwokununula eggwanga, era bagukozese mu kukyusa byonna ebitatambula bulungi.
Ssaabasumba agambye nti banna Uganda bangi balaba nga government eyeerabira omulamwa gwayo.
Asabye banna NRM okuddayo ku nnono, bannansi bonna beenyumirize mu government yabwe.
Bisakiddwa: Achileo Kiwanuka