Ssaabasumba w;’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere ayongedde okuvumirira omuze gw’obubbi ogusukiridde mu Uganda nga kiviiriddeko ne kkampuni ezimu ezibadde ez’amaanyi okugwa olw’abakozi okubba buli kyebasanze awatali yadde okusaasira
Bishop Paul Ssemogerere bino abituuseeko bw’abadde akulembeddemu ekitambiro kya missa kkolero lya Uganda Clays Limited e Kajjansi.
Abakulira ekkolero lino bamukwasizza ekyapa ky’ettaka eriwezaako ekitundu kya Yiika, lyebawaayo okuzimbako Ekrezia ya St Barbara Catholic sub parish.
Ssabasumba mungeri yeemu akubirizza bannauganda naddala mu bitundu bya Buganda okukomya omuze gw’okwekiriranya obunnanfuusi, nebalemererwa okwogera ekituufu ku nsobi ezikolebwa.
Ssentebe wa district ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika ategeezeza nti olw’obukulu bwa kkampuni ya Uganda Clays bwebwamuwaliriza okuperereza bakulembeze banne okufuula eggombolola eno eyali eyitibwa Ssisa nebagifuula Kajjansi Town Council, era asiimye Omuk. Eng Martin Kasekende ssentebe wa boodi ya Uganda Clays olw’emirimu gyakoledde eggwanga .
Ssenkulu wa Uganda Clays Limited Lauben Tumwebaze Byaruhanga agambye nti baasalawo okuwaayo ettaka okusobola okugaziya obuweereza bwe Krezia mu kitundu kwossa n’enkulaakulana.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo