Bannakyaggwe ku mwalo gwe Katosi mu ggombolola ya Ssabaddu-Nanfumbambi Ntenjeru babugaanye essanyu oluvanyuma lw’okulaba ku Ssabasajja Kabaka asiimye n’abalambulako akawungeezi nga tebamusuubira.
Ssabasajja Kabaka atuuse ku mwalo gwe Katosi mu ssaawa na ziyingira 11 ez’akawungeezi, era nalambula abantube omuli n’abavubi kwossa n’ebyo byebakola.
Abantu b’Omutanda mu mwalo guno nga bakulembeddwamu omwami w’omuluka gwe Nsanja mu ggombolola eno eya Ssabaddu-Nanfumbambi Ntenjeru Mukasa Isa Bbosa ne Ddiba Wilberforce atwala ekitongole ky’abaliko obulemu mu Ssaza Kyaggwe, bagambye nti babadde balina ennyonta okulaba ku Mpologoma era nebeyanza Nnyininsi okusiima nabalambulako.
Gonja Fred omuwandiisi w’olukiiko olukulembera omwalo gwe Katosi agambye nti Ssabasajja Kabaka abakubye ka “surprise”.
Bisakiddwa: Kawere Wilber