Enkumi n’enkumi z’abantu betabye mu kuziika eyaliko omubaka wa Makindye West munnakibiina kya JEEMA Hajji Hussein Kyanjo.
Ssaabasajja Kababa Ronald Muwenda Mutebi II asaasidde abenju yamusajjawe, era eyaliko omubaka wa parliament okumala emyaka 10 owa Makindye West Hajji Hussein Silimaani Kyanjo.
Obubaka bwa Nyinimu Sabasajja Kabaka busomeddwa mu kuziika Hajji Hussein Kyanjo e Ntuuma mugombolola ye Kitanda mu district ye Bukomansimbi mu Buddu, busomeddwa omumyuka asooka owa Katikkiro Owek.Twaha Kawaase Kigongo.
Hajji Hussein Kyanjo mu parliament yaliyo ebisanja 2 okuli parliament eyo 8 wakati wa 2006/2011 ne parliament eyo 9 mu 2011/2016, era yali.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga,ye obubakabwe mukuziika Hajji Hussein Kyanjo busomedwa omumyuuka asooka owomukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek.Ahumed Lwasa.
Super Supreme Mufuti Sheikh Muhammad Ggalabuzi ngakikiridwa omumyuuka we Sheikh Ibrahim Ntanda,akaayukiddr abakozesa obuyinza n’ebifo byabwe okutulugunya abalala.
Agambye nti Kyanjo abadde ayagala nnyo okutaasa abatulugunyizibwa, era asabye Kyanjo bateendese okutwala mu maaso byeyabatendeka.0
Akulira oludda oluvuganya government mu Parliament Owek. Mathias Mpuuga Nsamba nga yayogedde kulwa president w’ekibiina kya NUP atali mu ggwanga,agambye nti omugenzi Kyanjo wadde abade mugonvu naye abadde akyabajjukiza okununula banayuganda abakyatulugunyizibwa.
Col Dr Kiiza Besigye ayogede ku Kyanjo nga munabyabufuzi owenjawulo,abadde alwanirira n’ensonga zaabo ate ye abatamwagala.
Besigye asabye bannauganda okwerwanako nti kubanga ababadde babalwanirira bakendedde.
Ssentebe wa JEEMA mu Uganda Muhammad Mayanja Kibirige agambye nti Hussein Kyanjo obulwadde obumusse bwekuusa kukuweebwa obutwa, era alina abantu beyateebereza nti naye olw’okukuuma emirembe teyaboogera obudde bwe, n’abumalirira ku kwejanjabisa.
Abaana bomugenzi nga bakulembeddwamu mukulu wabwe Frooq Kyanjo, bawanjagide abo bonna ababade nenziro kukitwabwe okumusonyiwa,ate nokusigala nga bakolagana bulungi nabo nga bwekibadde nga kitabwe akyaliwo.
Mukwano jomugenzi nga bakulembedwamu Imam Iddi Kasozi,basabye abakulembeze okuli abediini nebanabyabufuzi abasiraamu,okulemberamu bageende eri government okuteesa n’abagambibwa okubeera abayeekera ba ADF bwebabeera nga gyebali, nti kuba bakooye okutulugunya buli musiraamu ng’ayitibwa owa ADF.
Wabula wabadewo okuwanvuya kumaloboozi,nga abakungubazi bangoola minster Kyeyune Haruna Kasolo,era asanze akaseera akazibu okumaliriza okwogerakwe nga abakungubazi bamuwerekeza ebisongovu.Speaker wa parliament Annette Anite Among obubakabwe abutise Hon Asuman Basalirwa nga bubade bwa bukadde 10.
Ssabawandiisi wa NUP Lewis Lubongoya abaddewo, Katikiro wa Buganda eyawumula owekitibwa Dan Muliika,Omulamuzi Musa Ssekaana, Amyuka Mufuti wa Uganda Sheikh Abduarah Ibrahim Ssemambo nabalala bangi.
Hajji Hussein Silimaani Kyanjo afiiridde ku myaka 63.
Obulwadde bumulumidde emyaka 13 era ng’ekiseera kino abadde ayambibwako ebyuma okwogera, buli kadde by’abadde ateeka ku masannyalaze okufuna amaanyi.
Yazaalibwa mu 1960 n’afa nga 22 July,2023.
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior