Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ali mu ssaza lye erye Bulemeezi gy’agenze okuggulawo empaka z’ebika by’abaganda ez’omwaka gino 2022.
Bazzukulu ba Mutesaasira ab’Engo ne bazzukulu ba Mutasingwa ab’Embwa bebagguddewo empaka z’omwaka gino, mu kisaawe kye Kasana Luweero.
Omupiira gutandika saawa 9, wasoaeewo okuyisa ekivvulu eri ebika byonna mu maaso g’Omuteregga, ate n’omupiira gw’okubaka era wakati w’Engo n’Embwa.
Empaka zino zibadde zimaze emyaka 2 nga tezizanyibwa olw’omuggalo gwa covid 19.
Zibadde zaasemba okuzannyibwa mu 2019 zaawangulwa e mbogo, ate Ennyonyi Ennyange n’ewangula engabo y’okubaka.
Abantu ba Ssabasajja Kabaka mu ssaza Bulemeezi babadde bakwatiridde ku nguudo wakati mu kusindogomya embuutu n’okunyenya ku galiba enjole.