Ssabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja ayimiriza minister w’ensonga zobwa president okukyusakyusa ababaka ba president nga tafunye lukusa okuva eri omukulembeze w’eggwanga
Ebbaluwa ssabaminisita Nabbanja yagiwandiika omwezi oguwedde ogwa January 2025, eri minister w’ensonga zobwa President Milly Babalanda..
Ssabaminisita agamba nti azze afuna okwemulugunya okuva muba RDC nti bakyusibwakyusibwa nga president talina kyazimanyiiko, saako okutaataaganya emirimu gyabwe.
Ssabaminisita agambye nti obuyinza bwonna obukola enkyuukakyuuka mubabaka ba president buli mu mikono gya mukulembeze w’egwanga yekka .
Nabbanja akinogaanyizza nti enkyukakyuka mu babaka ba president zirina kukolebwa nga minister w’ensonga z’obwa president afunye obuyinza oba ekiragiro ekimuweereddwa omukulembeze w’eggwanga sso SSI nga ye minister bwaba ayagadde.
Ensonda mu offiisi ya president ne ministry y’ensonga zobwa president zibuulidde CBS nti wabaddewo okwemulugunya okuva eri ba RDC bangi nga bakyuusibwa mu ngeri etategerekeka
Abalala bawumuzibwa ku buweereza nga tebeyagalidde, abalala nga baweebwa ebibonerezo wabula nga omukulembeze weggwanga eyabalonda talina kyabimanyiiko.#