Police etegezezza nti ekyalindirira abakugu okuva mu Bungereza ne South Africa abagenda okwekebeggya emibiri gy’abalambuzi abaatemulwa mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National park.
Abalambuzi 2 okwali munnansi wa Bungereza noowa South Africa, wamu ne munnauganda Eric Elyaayo eyali abalambuza baatemulwa abantu abateebereza okuba abatujju ba ADF bwebaali balambula mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park.
Fred Enanga omwogezi wa police mu Uganda ategezezza nti emirambo gyabwe gikuumibwa mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mulago, nga bwebalindirira abakugu mu kwekebeggya emirambo okuva e Bungereza ne South Africa.
Agambye nti amawanga ago gaasaba gaweereze abakugu okwetegereza emibiri gy’abantu baabwe ate n’okwekeneenya obujulizi obwakakungaanyizibwa ebitongole by’eby’okwerinda ebyawano mu Uganda.
Fred Enanga ategezeza nti police n’ebitongole by’eby’okwerinda ebirala byongedde okunyweeza eby’okwerinda mu bifo byonna ewali eby’obulambuzi, mukawefube w’okunyweeza eby’okwerinda n’okutangira embeera eyaliwo obutaddamu.
Mukiwendo kye kimu Fred Enanga ategezezza nti mu bikwekweeto ebyakoleddwa, baakutte abantu 22 abateberezebwa okuba nti balina akakwate ku batujju ba ADF ababadde bekukumye mu district ye Kyankwanzi era gyebabadde bakubye amakanda.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico