Eyaliko omuduumizi wa police mu bukiika ddyo bwa Kampala Siraje Bakaleke akwatiddwa, kyokka poliisi neemuta ku kakalu kaayo,oluvannyuma lw’okukola sitatimenti.
Siraje Bakaleke abaddre yabulawo okuva mu police mu mwaka gwa 2018, oluvannyuma lw’okuggya ensimbi eziwerera ddala emitwalo gya doola za America 415,000 mu zaawano ke kawumbi kamu n’Obukadde 567 okuva ku bamusigansimbi aba South Korea, Jang Shingu ne Park Seunghoon abakolera kampuni ya Mckineley Resource Company Limited eyali ensuubuzi wa Zzaabu.
Siraaje Bakaleke ne banne okwali Innocent Nuwagaba ,Junior Amanya, Babu Gastavas , Robert Ray Asiimwe n’abalala emisango egyali gibavunaanibwa gyasuulibwa, olwobutalabikako mu kkooti.
Siraje Bakaleke egimu ku misango egimuvunaanibwa n’okutuusa olwa leero ssinga asimbibwa mu maaso g’omulamuzi kuliko, okuggya ensimbi ku bantu mu lukujjukujju, okudduka mu police awatali lukusa n’Okukozesa obubi wofiisi era mu Uganda amaze emyaaka etaano nga taliimu.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti Bakaleke wakuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.
Mu ngeri yeemu police etandise okunoonyereza ku basajja baayo abagambibwa okuba nti babadde bagufudde mugano okuwaayo ensimbi eri abantu ababadde babafera, nga babasuubiza okusuumusibwa amadaala.
Kino kiddiridde Omusajja Moshe Robert abadde yeeyita omuserikale ng’aggya ensimbi ku baserikale ng’abasuubiza okuziwa abakulu babalinnyise amadaala, kyokka bwebyagaana bano kwekwekubira enduulu mu police ennoonyereze ku musajja oyo.
Bisakiddwa: Kato Denis