Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya She Cranes etandise namaanyi mu mpaka z’ensi yonna eza Netball World Cup ezitandise mu South Africa, ekubye Singapore obugoba 79 ku 37.
She Cranes emazeeko omuzannyo guno ng’ewangudde ebitundu byonna 4, ng’ekitundu ekisoose ekiwangudde n’obugoba 22-9, ekitundu eky’okubiri ekiwangudde n’obugoba 20-9, ekitundu eky’okusatu ekiwangudde n’obugoba 20-11 ate nga ekitundu eky’okuna ekiwangudde n’obugoba 17-8.
Abazannyi abasinze okulaga omutindo ye Haniisha Muhammeed nga yasinze okuteeba goolo ennyingi 31, Namulumba Christine ateebye goolo 15, Mary Nuba goolo 17, Shaffie Nassanga goolo 12, Irene Eyaru 7 n’abalala.
She Cranes eddako kuttunka ne New Zealand eyawangula empaka ezasembayo, era yakusembayo nga ettunka ne Trinidad and Tobago ku Sunday nga 30 July,2023.
Mu kibinja kye kimu omuli She Cranes, New Zealand ekubye Trinidad Tobago obugoba 76-27.
Mu kibinja A, Tonga ekubye Fiji obugoba 56-51 ate Australia ekubye Zimbabwe obugoba 86-30.
Empaka zino zizannyibwa mu kisaawe kya International Convention Center ekisangibwa mu kibuga Cape Town ekya South Africa, era empaka zino zigenda kuzannyibwa okutuuka nga 6 August 2023.