Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’okubaka eya She Cranes, eyongedde okukola obubi mu mpaka za Vitality Netball Nations Cup bwekubiddwa omupiira ogw’okubiri ogw’omuddiηanwa.
She Cranes ekubiddwa Malawi obugoba 59 ku 49.
Empaka zino ziyindira mu Nottingham e Bungereza.
She Cranes yasoose kukubibwa South Africa obugoba 70 ku 45.
Kati yakuzaako kuzannya nabategesi aba Bungereza.
Zigenda kukomekerezebwa nga 09 omwezi guno ogwa February,2025.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe