Ensonga za Parish development model PDM mu district y’eKalungu zirinnye enkandaggo, ab’obuyinza batandise okukwata abaggya ku batuuze ssente mu lukujjukujju.
Abakwatiddwa bali mu muluka gwe Kitamba mu gombolola ye Kalungu rural, wamu n’omuluka gwe Kasaali mu gombolola ye Bukulula.
Abakwatiddwa kuliko Parish chief w’e Kasaali mu gombolola ye Bukulula nga kigambibwa nti aliko abantu beyaggyako ensimbi, nga yerimbise munkubayamba okufuna ku nsimbi za Parish Development model.
Kigambibwa nti Parish chief Basaabala Tom yaggya ensimbi ku bantu 3 abamukwasizza, ng’omu yamuggyako shs emitwalo 400,000/=, omulala 450,000/= ate omulala 480,000/=
Abantu abalala 3 abakulira Sacco ezenjawulo bakyanoonyezebwa, ku bigambibwa nti babadde baggya ensimbi ku bantu abawera 50, nga buli afuna sente za PDM omuva mu bank, babadde bamuggyako emitwalo 45000/=.
3 bebaakakwativwa
Paddy Kayondo RDC we Kalungu agambye nti ekikwekweto ky’okuyigga abadobonkanya entegrka ya PDM kyakweyongera, era ng’ensimbi obukadde 2,250,000/= ezibadde zaggyibwa ku bantu mu lukujjukujju zinunuddwa nezibaddizibwa.
Kalungi Charles Mwanje avunaanyizibwa ku by’ensimbi ku district ye Kalungu agambye nti bonna abenyigidde mu kubulankanya sente za Parish Development Model bakukwatibwa era baziriwe.
Bisakiddwa: Nsubuga Musafaru