SC Villa Jogo Salongo ekiguddeko mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, Onduparaka egikubye goolo 1-0 mu Arua.
Omupiira guno guzanyidwa mu kisaawe kya Green Light Stadium.
Goolo ewadde Onduparaka obuwanguzi eteebeddwa captain Shaban Muhammed mu dakiika eya 39.
Onduparaka kati egenze mu kifo kya 8 nóbubonero 30 okuva mu mipiira 24,ate nga Villa Jogo Salongo esigadde ya 12 nóbubonero 25 okuva mu mipiira 25.
Omupiira omulala oguzanyiddwa, club ya BUL erinnye mu kifo ekyókusatu bwékubye Gaddafi goolo 2-0.
Liigi eno yakuddamu okuzannyibwa enkya ku lwomukaaga, KCCA yakuttunka ne Vipers mu kisaawe e Lugogo.