Akulira eby’okunoonyereza ku buzzi bw’emisango Brig.Christopher Ddamulira agambye nti Sacco eziwera 12 zezitandikiddwawo abavubuka ababeera mu bitundu bya Ghetto mu Kampala, mu kaweefube gwebaliko ow’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.
Agambye nti mu buli Sacco ezo government etaddemu obukadde bwa shs 100.
Abadde ku CBS Emmanduso 89.2 mu ppuloggulamu Kkiriza oba Ggaana ne Kalule Lameck, nga 18 March,2025
Agambye nti abavubuka bangi bebasobodde okuyunga mu nteekateeka za government nebasomesebwa obukugu obwenjawulo.#