Aba Rotary Club ya Antioch e California mu Amerika batonnedde Obwakabaka bwa Buganda ddoola z’Amerika 7000, nga zibalirirwamu ensimbi za Uganda obukadde obusoba mu 25.
Ensimbi zino zakuyambako okusima oluzzi mu Buganda, okuyita mu nkolagana y’Obwakabaka n’aba Wells of Life, era zikwasiddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Rotary Club eno erimu Bannayuganda, nga n’Omumyuka w’Omubaka wa Kabaka ow’obukiika kkono bwa California (San Francisco, Sacramento, Nevada), Paul Kiruuta naye mmemba wa rotary eno.#