Omulabirizi Rev.Enos Kitto Kagodo atuuziddwa ng’omulabirizi w’e Mukono omugya era owokutaano okutandika okusumba endiga za Katonda mu kitundu ekyo.
Omulabirizi omuwumuze bishop James William Ssebaggala amukwasiza obukulembeze.
Emikolo gy’okutuuza Rev.Kagodo giyindidde mu kisaawe kya Bishop SS Mukono.
Omulabirizzi omuggya Enos Kitto Kagodo akubye ebirayiro okukulembera e Kanisa ya Uganda mu Bulabirizi buno obwe Mukono, era nayambazibwa ebyambalo ebiggya ebimwawula ku Bannaddiini abalala era ebimufuula omulabirizi ajjudde.
Emikolo gy’okutuuza omulabirizi n’okukuba ebirayiro gikulembeddwamu Ssabalabirizi w’Ekanisa ya Uganda His Grace the Most Rev.Dr.Stephen Kazimba Mugalu.
Okubuulira ku mukolo guno kukulembeddwamu omulabirizi wa Central Busoga mu Kanisa ya Uganda Bishop Patrick Wakula, avumiridde ebikolwa eby’obufumbo obw’ekikula ekimu ebyongedde okumaamira eggwanga lino.

Omulabirizi Wakula yebazizza Omulabirizzi Ssabaggala awumudde ne Maama Tezirah Ssebaggala, olw’ettoffaali lyebatadde ku nkulakulana y’obulabirizzi buno obwe Mukono.
Bisakiddwa: Majorie Kiita Mpanga ne Kawere Wilber