Katikkiro wa Buganda munna Mateeka Charles Peter Mayiga asabye abawandiisi bébitabo okubiwandiika mu ngeri esikiriza kisobozese abantu okubyettanira okubisoma, neyebaza prof. Augustus Nuwagaba olw’okuwandiika ebitabo ebikwata obutereevu ku by’enfuna bya bannauganda.
Obubaka buno abutisse minister w’obuwangwa, ennono n’obulambuzi Owek. Anthony Wamala ku mukolo gwókutongoza ekitabo ki transformative economics ekyawandiikiddwa professor Augustus Nuwagaba omumyuka wa Governor wa Bank enkulu eya Uganda.
Ekitabo kino transformative economics kirimu obubaka obukwata ku by’enfuna n’obusuubuzi, ebisobola okuyamba okukyusa bannansi n’eggwanga okutwaliza awamu.
Katikkiro ategeezezza nti ekimu ku biremesezza amawaanga g’abaddugavu okukulaakulana, bébantu abatayagala kusoma bitabo wabula naategezza nti abawandiisi balina okwongera obuyiiya mu ngeri gyebawandiikamu ebitabo byabwe basobole okusikiriza abantu okubisoma
Akulira essomero lya kings College Buddo John Fred Kazibwe asabye amasomero essira obutalissa ku bya mu kibiina byokka wabula bateeketeeke abayizi mu ngeri enzijuvu, ngeno yejja okubasobozesa okuwangula ensi eno.
Professor Augustus Nuwagaba y’ebazizza bonna abamuyambyeko okuwandiika ekitabo kino.
Asabye banna Uganda okukomya okukukulira ensimbi mu maka gabwe kubanga kino kizza eggwanga emabega bwatyo nabawa ga buwa okusiga ensimbi mu bintu ebyómugaso.
Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus