Prof.Vincent Kakembo atuuziddwa nga Vicechancellor wa Muteesa I Royal University, ku kisanja kye ekyokubiri ng’akulembera University eno.
Ekisanja ekisooka eky’emyaka 5 ekisooka kyaweddeko mu November,2024.
Atuuziddwa ku matikkira ga University eno ag’omulundi ogwa 12 agayindira ku kitebe ekikulu ekya Ssettendekero eno e Kirumba Masaka.
Omulamuzi wa kooti y’ensi yonna Julia Ssebutinde, Vice Chancellor wa Muteesa I Royal University yatuuzizza Prof Vicent Kakembo ku kya Vice Chancellor.
Katikkiro Owek Charles Pater Mayiga ye mugenyi omukulu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga musanyufu eri Prof. Kakembo Vincent olw’okutuuka ku kkula lino ery’okutuuzibwa omulundi ogw’okubiri.
Katikkiro agambye nti gwe mulundi gwe ogusoose okubeera ku mukolo gw’okutuuza ViceChancellor .
Yebazizza Prof.Kakembo olw’omutima omukozi ate n’obukkakkamu.
Agambye nti University ya Ssaabasajjja eyise mu kusoomozebwa okwenjawulo okuva lweyatandika, wabula kati bamativu nti tewakyali kiyinza kujiremesa kwongera kukulaakulana.
Kwetabiddwako ba minister n’abebitiibwa abalala okuli Owee Cotilda Nakate Kikomeko minister w’ebyanjigiriza, Owek. Noah Kiyimba miniater w’olukiiko ne cabinent, Pookino Jude Muleke, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Omutaka Nsamba Aloysius Lubega Magandaazi n’abalala.
Prof.Kakembo ye ViceChancellor ow’okutaano, nga yakakulembera University eno emyaka 5.
Ssaabasajja Kabaka yasiimye n’amwongera ekisanja ekirala kya myaka 5.
Vice Chancellor eyasookera ddala ye Prof.Munaku Kaama, Prof. Erisha Ssemakula, Prof. Kigongo Bukenya, Prof.Arther Sserwanga ne Prof.Vincent Kakembo aliko kati.
Muteesa I Royal University yatandikibwawo mu 2004, mu 2005 neweebwa Licence ate mu 2007 netandikira ddala okusomesa abayizi.
Mu March, 2024 government yagikwasa Charter era kati esomesa amasomo mangi ku mutendera gwa waggulu, okuli Masters ne PHD.#