Police ezzeemu okulemesa president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu okutuuka mu bawagizi b’ekibiina, emusibidde ku lutindo lwa Ssezzibwa bw’abadde ayolekera district ye Pallisa.
Kyagulanyi nebakulembeze banne babayimirizza ku Ssezibwa era nebabalagira okudda e Kampala, okutuusa nga bamaze okukkaanya n’abebyokwerinda nebaweebwa olukusa okutalaaga eggwanga ng’ekibiina ky’ebyobufuzi.
Bagezezaako okuwalira police nebakubamu omukka ogubalagala, nga wabadde wakayita olunaku lumu era ng’ebalemesezza okugenda e Kamuli gyebaalina olukungaana.
Kyagulanyi ssentamu omukulembeze w’ekibiina kya NUP agambye nti ebikolwa ebibakolebwako mu kiseera kino bikolwa bya fujjo nga bagezaako okubalemesa okutuuka mu bantu.
Mu lukungaana lwabanna mawulire lwatuuzizza ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule oluvannyuma lw’okulemesebwa okweyongerayo e Pallisa, agambye nti bagenze okutuuka ku kitebe kyabwe nga police ya Uganda ebawandiikidde ebbaluwa erimu obukwakulizo obugenderedemu okubalemesa.
Mu bumu kubukwakulizo Police abalagidde enkungaana nti zirina kubeera munda mu bizimbe,police erina okumanya ku muwendo gw’abantu bebabeera bagenda okusisinkana wamu n’obukwakkulizo obulala.
Police mungeri yemu eyise abakulembeze b’ekibiina kino basisinkane abakulira Police, era Kyagulanyi ayimirizza olukungaana olulala olubadde lugenda okubeera e Toro ,n’olukungaana lwe Mityana.#