President w’ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi wine akukkulumidde ebitongole ebikuuma ddembe olw’okubakubangamu omukka ogubalagala buli gyebalaga nga bagenda okusisinkana abawagizi babwe mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Kyagulanyi Ssentamu okwogera bino abadde munkuyanja y’abawagizi b’ekibiina kino abakunganidde mu kisaawe kya Masaka Recreation grounds.
Wabaddewo wakayitawo wiiki emu yokka nga police ebakubyemu omukka ogubalagala bwebaali bagenda e Kamuli, era n’olukungaana lwabwe nerusazaamu.
Ne ku mulundi guno bwebabadde bagenda e Masaka police ebakubyemu omukka ogubalagala nga batuuse e Kako, ebadde ebalemesa okuyita mu Nyendo ku Welcome, nebalagira okukwata ekkubo lye Kako eribaggusa ku lye Bukakkata batuuke ku Masaka Recreation Grounds.
Kyagulanyi agambye nti byonna ebibakolebwako tebigenda kubamalamu maanyi, era nakubiriza abawagizi be obutava ku mulamwa
Kyagulanyi mungeri yemu awanjahgidde banna Buddu okukwataganira awamu okuzimba Masaka nga bali kitole.
Kyagulanyi ayogedde n’okutugunyizibwa kw’abantu ku Nyanja,nga agamba nti okugoba abantu ku mirimu kyekivudeko n’obumenyi bw’amateeka okweyongera.
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssenyonyi naye atabukidde ebebyokwerinda olw’okukuba abantu omukka ogubalagala,ate nga babalumbye mu kisaawe gyebakungaanidde
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NUP David Lewis Rubongoya awanjagidde abantu mu bendobendo lye masaka okwongera okujumbira antekateeka y’okwewandiisa n’ekibiina kino bafuuke ba memba abajjuvu aba NUP.