President w’ekibiina ki Justice Forum JEEMA Asuman Basaalirwa agobye abamu ku bakulembeze b’ekibiina kino naalonda abapya.
Ababiri ku bafuumudwa ku bukulembeze bw’ekibiina besowolayo gyebuvudeko nga begwanyiza Entebbe y’obukulembeze bw’ekibiina.
Kuliko Abdulnoor Kyamundu abadde omwogezi w’ekibiina era minister w’ensonga z’amawanga amalala ne Gamba Bukhari naye abadde yegwanyiza entebe y’obwa presidenti bw’ekibiina, era y’abadde ssaabakunzi w’ekibiina.
Mu kiwandiiko ekibagoba, Asuman Basalirwa agambye nti ssemateeka amuwa obuyinza okulonda abantu baabeera ayagala okwongera ku ntambuza y’emirimu mu kibiina
Alonze Dr Shuaib Kaggwanga nga omwogezi w’ekibiina,Hadija Babirye alondedwa okukulira abakyala mu kibiina ne Gwaivu Mubashar nga ssabakunzi w’ekibiina.
Gamba Bukhari omu kubagobedwa mu kibiina agambye nti kikwasa ennaku okubeera n’ekibiina nga abakikulembera tebagala kubavuganya, era nti kyekimugobezza ku bukulu.
Abadde omwogezi w’ekibiina kino Abdulnoor Kyamundu agambye nti Presidenti wabwe kyasinze okukola mu kisanja kye kwekugoba abantu ,nawera nti tebagenda kukkiriza kibiina kyabwe kugenda mu NRM.
Wabula ssabawandiisi wa JEEMA Muhammad Kateregga ategezezza nti enkyukakyuuka ezikoleddwa President wabwe zakutereeza entambuza y’emirimu mu kibiina, nga betegekera akalulu ka 2026.
Bino bijidde mu kiseera ng’obugulumbo bweyongedde mu bibiina ebivuganya government ebiwerako, okuli FDC yayawulwamu ebiwayi 2, DP, NUP n’ebirala.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge