President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni ne mukayala Janet Kataha Museveni era Minister w’ebyejigiriza ne mizaanyo bazizza buggya obugya NdagaMuntu zabwe, mu nteeekateeka y’e kitongole kya NIRA ekikola kukuwandiisa bannauganda bonna n’okubawa endagamuntu.
Ekitongole kya NIRA kyatandika okuzza obugya Ndagamuntu za bannauganda okwetoloola e ggwanga lyonna nga 27 May,2025, era program yakumala emyezi 6.
Okusinga NIRA etunulidde nnyo NdagaMuntu za bannauganda ezagwako omwaka ogwa 2024, nezzo ezaweddeko omwaka guno,nga okwewandisa kuyindira ku miruka okwetoloola eggwanga lyonna.
President Museveni ne mukyala we Ndagamuntu zamwe baziddiza bugya mu maka gwobwa President e Nakasero mu Kampala, era abekitongole kya NIRA babadde bakulembeddwamu senkulu wakyo Rosermary Kisembo.
President Museveni asinzidde wano nasaba bannauganda bonna okwettanira enteekateeka eno, nti kubanga Endagamuntu yafuuka kitundu ku bulamu bwa bantu ate etambulirwako ebintu bingi. nti era ne government kwesinziira okuteekerateekera abantu obulungi.