Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta M7 ategeezezza abalonzi mu bitundu bya Buganda nti teyabanyiigira olwokuba yameggebwa mu kitundu kino mu kulonda kwa 2021, agambye nti yazuula ekituufu nti akalulu ke kabbibwa era kyeyava awangulwa mu Buganda.
President Museveni asiinzidde mu kisaawe kye ggombolola eye Kituntu mu district ye Mpigi.
Akubye olukuηaana lwa bonna bw’abadde akomekkereza olugendo lw’amazeeko ennaku 3 ng’akyalira abatuuze abaafuna ssente za Parish development model mu bbendobendo lye Mpigi, omuli districts 3 Okuli Gomba, Butambala ne Mpigi.
President Museveni akikkaatirizza nti tanyiigirangakonbantu ba Buganda, nti wabula yanyiigira abo abali lukudda okuvuganya government ye abaamubba obululu bwe obukadde bubiri n’emitwalo nsanvu (2.7m) nti ate aba NRM nebabiteekamu omuzannyo.
Kyokka Museveni agambye nti ku mulundi guno ebyokubba obululu ng’abalonzi abamu balonda omulundi ogusukka mugumu byakomye, nti olwokuba goverment egenda okufuna ebyuuma bikali magezi okuggyawo omuze ogwo.
President Museveni era yeeyamye eri banna Mpigi nti agenda kwogera naba ministry y’ebyobulamu Eddwaaliro lya Mpigi H/4 lusuumusibwe lituuke ku ddaala lya hosipital, ate n’alagira aba ministry yebyobulamu bamalirize mu bwangu ekizimbe Abakyala mwebazaalira ku ddwaaliro lye Kituntu, nga ekizimbe ekyo kibadde kyakoma wakati.
President era alagidde abebyokwerinda baddemu bakwaate omusajja eyakwatibwa mu bubbi bw’ente mu ggombolola ye Kituntu kyokka kooti nemwejjeereza, n’alagira police obutaddamu kuwa kakalu kaayo ababbi b’emmwanyi wamu n’ente.
Mu ngeri yeemu Minister omubeezi owa micro finance mu ggwanga Kyeyune Haruna Kasolo alagidde police ekwate abawozi b’ensimbi ba money lender abaggya endagamuntu ku batuuze.
Kyokka bibadde biri bityo, banna kibiina Kya NRM ababadde bava kulukuηaana lwa President M7 e Kituntu bagudde ku kabenje nga baddayo ewaabwe.
Akabenje Ako kavudde ku mmotoka ekika Kya Toyota canter number UA 362 AQ kwebabadde basaabalira okulemererwa dereeva neewaba neegwa ekigwo, kukyaalo Mbizzinnya okumpi ne Buwama.
Ababadde ku loole eyo eyemitayimbwa abasukka mu 15 bamenyesemenyese abalala nebafuna ebisago ebitonotono.
Omu kubeerabiddeko nga ye Male Jaberi Mzee Mikando owe Buwama ategeezezza Cbs nti abawagizi ba President babadde baddayo kukyaalo kye Ssenyondo ku kizinga kye Bunjakko.#