President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa kyaddaaki alonze ba governor ba banka enkulu ey’eggwanga
Alonze abadde omumyuka wa governor Dr Michale Ating -Ego, kati ye governor wa bank of Uganda omujjuvu.
Omusomesa era kakensa mu by’enfuna Prof. Augustus Nuwagaba yaalondeddwa okumyuka governor.
Ekifo kya governor wa bank enkulu kimaze emyaka 3 nga kikalu, okuva eyali governor wa bank eno Prof. Emmanuel Tumusiime Mutebire okufa mu mwaka 2022.
Dr. Atingi- Egi Michael abadde omumyuuka wa bank Eno okuva mu mwaka 2020, nga yadde mu bigere bya Louis Kasekende.
Ekiwandiiko ekivudde mu Maka gobwa president kiraze nti kalonda akwata ku buyigirize bwabakulu bano asinddikiddwa eri parliament bakubwemu tooki.
Abakulu bano omukulembeze weggwanga wabalondedde nga bank enkulu ey’eggwanga eri mu kattu, olw’ensimbi eziri eyo mu buwumbi 60 ezaabuzibwawo mu bank of Uganda mu ngeri eriko ebibuuzo, era abamu ku bakozi mu bank eno baakwatiddwa bali mu makomera.#