Omukulembeze wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa ategezezza nti wakyaliwo obwetaavu bw’okunoonya akatale k’ebyamaguzi ebikolebwa mu Uganda.
Agamba nti mu Uganda ebyenfuna byongedde okukula nga Uganda eri mu mawanga agali yaddeyaddeko, nti kubanga bannansi bongedde okufulumya ebyamaguzi ebiwera omuli amata, kasooli, ennyama n’ebirala, so nga tebiyinza byonna kugulibwa munda mu Uganda nebigwawo.
Alagidde ebitongole byonna ebikwatibwako okutema empenda z’okunoonya obutale bw’ebintu ebikolebwa mu Uganda.
President abadde ku mukolo ogw’okusoma embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2025 /2026 eya Trillions 72 ku kisaawe ekololo.
Gen Museveni yawabudde amawanga ga Africa okukolera awamu n’okuzimba emikago mu byobusuubuzi, ebyobufuzi nebirala kiyambeko okufuna obutale obw’ebintu bye bafulumya
Mzee Museveni ategezeezza nti government etadde ensimbi mu nteekateeka ez’enjawulo omuli Parish Development Model, Emyooga nebirala era kino kiyambye abantu abawela okukola n’okweggya mu bwavu. #