Pressident wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni agambye nti ssimwetegefu kugumiikiriza muntu yenna agezaako kutabangula mirembe gy’eggwanga, neyewera okubakolako n’omukono ogw’ekyuma.
Gen Yoweri Museveni okwogera bino abadde ku mikolo gya Tarehe Sita egiyindidde ku kisaawe e Kasasa mu district ye Kyotera, eggye ly’e ggwanga lwerijagulizza emyaka 44 nga likuuma emirembe mu ggwanga.
Gen Museveni agambye nti UPDF tegenda kukkiriza muntu yenna kutabangula mirembe,era asabye ne banna Uganda okuwagira emirimu ejikolebwa amagye.
Museveni yebazizza ebendobendo lye Buddu olw’okwerwanako okwekulakulanya nga balima emmwanyi n’ebirime ebirala by’agambye nti bikulakulanyizza ekitundu kino wadde nga kyakosebwa nnyo entalo ezaaliwo ebiseera ebyo.
Museveni wano wasinzidde naasaba abalimi b’emmwanyi okwongera ku mutindo gwazo bwebaba bakuzifunamu ensimbi ezegasa.
Mu ngeri yeemu president Museveni atenderezza bannascience abongedde okuyiita ebintu ebynajawulo ebitaasa obulamu bw’abantu, naawa eky’okulabirako eky’abayizi ku Busitema university abaayiiya eddagala eriwonya Covid 19.
Minister w’ebyokwerinda Jackson Oboth Oboth alabudde banna Uganda obutabuzabuzibwa banna byabufuzi ababaggya ku mulamwa gwa government ogw’okukulaakulanya eggwanga.
Omuduumizi w’eggye ly’e ggwanga erya UPDF Gen Muhoozi Kainerugaba atabukidde kooti ensukulumu olw’okuggyawo emirimu ejibadde jikolebwa kooti y’amagye mu ggwanga,agambye nti kino kigenda kukosa emirimu gya UPDF nasaba omukulembeze w’eggwanga ensonga eno okujigonjoola nga bukyali.
Agambye nti bakyalwanagana n’obubinja bw’abakwata mmundu e Kalamoja, era nti abatanakwatibwa babayigga.
Muhoozi alabudde ne banna byabufuzi abagala okutabangula emirembe mu kalulu akabindabinda aka 2026, agambye nti babalondoola era anaava ku mulamwa wakukolwako.
Abakungu bangi abetabye ku mukolo guno era abawerako baweeredwa emidaali olw’obuzira bwebaakozesa okulwanirira emirembe mu ggwanga lino, ate naabo abakoze emirimu ejiweesa eggwanga lyabwe ekitiibwa nabo baweredwa emidaali.