President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yeerayiridde okugoba abasomesa bonna abatanadda ku masomero ga government oluvannyuma lw’ebbanga nga bekalakaasa, nti bandiba nga balina ebigendererwa ebikusike.
President Museveni abasomesa beyeweze okugoba bebakyalemedde mu keediimo kati okumala wiiki 4, sso nga olusoma olumalako omwaka gw’abayizi lugenderera nga n’ekiseera ky’okutuula ebibuuzo eby’akamalirizo kisemberedde,nagamba nti abasomesa bano bafiiriza abaana ate ng’omusaala gwabwe gujjakusasulwa.
President abadde mu lukuηaana lwa bannamawulire lwatuuzizza mu maka g’obwapresident agasangibwa e Baliregi mu district ye Otuke bwabadde ayanjulira bannamawulire enteekateeka ye ey’okunoonya akalulu bwetambudde mu bendobendo lya Lango.
Museveni mu ngeri yeemu ategezezza nti government yaakuddamu okulambika abavubi bonna ku nyanja n’emigga mu ggwanga okukendeeza ku muwendo gwabwe n’okutangira abagwiira obutaddamu kuvubira mu mazzi ga Uganda nga kawefube wakutaasa ebyennyanja.
President Yoweri Kaguta Museveni, agambye nti ekisanja ekijja government ye egenda kunyinyitiza okulunda ebyennyanja ebyebidiba okutangira abavubi abamu okugenda mu nyanja n’e migga.
Bisakiddwa: Ddungu Davis












