President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa alabudde abakozi ba government bannascience abalina gwayise omupango okuwumula emirimu gya government ng’ekiseera kyabwe kyebawumulirako tekinatuuka nti tebagenda kuweebwa kasiimo.
President Museveni agambye nti ekigendererwa ky’okubongeza omusaala kyakuweereza ggwanga, nti naye abasalawo okuwummula ng’ekiseera tekinatuuka government teggya kuzibawa, bakuviiramu awo.
Abitadde mu kiwandiiko kyafulumizza ekitangaaza ku kaleega bikya akaliwo mu ggwanga akava ku kugatta n’okugyawo ebitongole bya government naddala ekya Uganda Coffee Development Authority.
Okusinziira ku mateeka agafuga abakozi ba government mu Uganda, omukozi amanyiddwa nga Public Servant awumulira ku myaka 60 ,wabula kigambibwa nti bangi oluweza emyaka egyo, nga bakyuusa ebiwandiiko byabwe n’endagamuntu zabwe okukundeeza emyaka n’ekigendererwa eky’okwongezaayo emyaka nga baweereza mu government.
Wabula government bweyayongeza emisaala gyabannascience, president Museveni agamba nti bangi kubbo bagala okuwummula nga bukyaali bafune akasiimo n’ensako mu bwangu.
Omukozi wa government ali ku buweereza obwa contract , afuna akasiimo ka NSSF, songa omukozi wa government awumulira ku myaka 60, afuna akasiimo ka pension kano ng’oluweza emyaka egyo, nga government ekamuwa.
Museveni ku nsonga y’okuggyawo ebitongole byagamba nti binyunyunta eggwanga, alemeddeko agambye nti birina okuvaawo ensimbi ezisaasaanyizibwa ku bitongole bino okusasula emisaala, ensako y’abakozi n’ensako y’enkiiko za Boodi z’ebitongole government ezikozese ebintu ebirala
Okusinziira ku museveni, buli mwaka government esaasaanya ensimbi trillion 2 n’obuwumbi 200 okuddukanya ebitongole, songa eta esasaanya ensimbi trillon 2 n’obuwumbi 600 okuddukanya ministries.
Museveni agambye nti ensimbi ezo, ezisaasaanyizibwa okuddukanya ebitongole kye kiseera zigende mu ministries, obuvunanyizibwa bw’ebitongole mwebugenda okuzzibwa.
Kino ekiwandiiko kya mulundi gwa kusatu mu nnaku ssatu, okuva parliament lweyalonda okuddamu okwanjula ebbago ly’etteeka ly’emmwanyi.#