President wa Uganda Gen.Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa agugumbudde banna byabufuzi bagambye nti bagumaaza eggwanga ku nsonga z’emmwanyi, n’okugezaako okwerabiza abantu ebintu ebirala byebasobola okukola okufunamu ensimbi.
President Museveni abadde ayogerako eri eggwanga ng’asinziira mu maka ge e Nakasero, agambye nti ababadde tebaagala kitongole ky’emmwanyi ki Uganda Coffee Development ( UCDA) kugattibwa ku Ministry y’e byobulimi nti bebalabe ba Uganda.
President agambye nti eggwanga teriyimiriddewo ku mmwanyi zokka, nti n’okuggyawo ekitongole ekyo, akayise akasonga akatono ennyo akabadde tekalina kumalirwako budde.
Agambye nti atunuulidde kimu kukulaakulanya Uganda, era nategeeza nti Uganda ezze ekulaakulanira ku bitundu 6.3% buli mwaka, okuva mu 1986 lweyakwata obuyinza.
Gen Museveni agambye nti abakozi mu kitongole ekya UCDA babadde bafuna omusaala mungi ate nga tebakola kimala kuweereza bannansi.
Agambye nti ye ng’omusajja omulwanyi yakizudde nti abantu ababadde basinga okukolera eggwanga ate bafuna kitono, naddala banna science abanoonyereza ku by’eddagala n’ebika by’endokwa eby’enjawulo ezitataaganyizibwa mbeera ya butonde.
Aleese abasirikale ba UPDF bagambye nti bebabadde bagabira abantu emmwanyi okuzirima wabula ssi UCDA.
Abasirikale bano bategezeza Presidenti Museveni nti ekitongole kya UCDA kibadde kikaabya abantu nga kibabbako ensimbi era nebamutegeeza nti Operation Wealthy Creation yeyambye abantu.#