Kamalabyonna a Buganda Charles Peter Mayiga asabye Abavubuka bannabitone okukozesa Obuyiiya, Amaanyi n’Obugumiikiriza mu byebakola, bwebaba baakunyumirwa ebiseera byabwe eby’Obukadde.
Katikkiro okwogera bino abadde asisinkanye bannabitone abeegattira mu mukago ogwa Uganda Cinematographers Association abamusisinkanye mu Bulange e Mengo.
Katikkiro abawadde amagezi nti okukola ennyo n’amaanyi gabwe nga bakyesobola, nti kubanga Obuvubuka obw’Ekyegyo bwamutawaana nnyo eri Obulamu bw’Ekikadde.
Katikkiro alabudde abavubuka naddala bannabitone , okwewala obwa Kyakayiga mu mirimu gyebakola, okwewala okukopperera eby’ekizungu, wabula bakole emirimu mu ngeri etuukana n’Omulembe oguliwo ogwa Technology.
Abalabudde n’okwewala okukwata obutambi bw’ennyimba obuggyayo ekintu ekituufu omuyimbi ky’abeera ayimbako.
Abawadde eky’okulabirako tekiwa makulu omuyimbi okuba ng’oluyimba lw’ayimbako lumulaga ng’ali mu nnimiro, ate ng’eno bweyesiize “make-up”.
Minister w’Abavubuka Ebyemizannyoo n’Ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga Sserwanga, asabye bannabitone okwetoloola ensi yonna okwewala enjawukana n’Okulwanagana, mungeri eyenjawulo naasaba bannabitone okuwangana Amagezi mu mirimu gyabwe.
Nnyanja Jude Ssempebwa nga ye Ssentebe w’Abayiiya aba Uganda cinematographers Association , asabye wabeewo enkolagana wakati waabwe n’Obwakabaka mu kutumbula, Ebyobulambuzi n’Obuwangwa nga bissibwa ku Ntambi ez’Olukale n’Enneekusifu, olwo ekitiibwa kya Buganda kyongere okuwulirwa.
Bisakiddwa: Kato Denis













