President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa atonzeewo akakiiko akenjawulo mu maka ga president akagenda okuyambako ekitongole ky’emisolo ekya Uganda Revenue Authority, okukungaanya omusolo mu bannauganda n’okuziyiza abagubba.
Akakiiko kano katuumidwa State House Revenue Intelligence and Strategic Operations Unit, era omulimu gwakwo omunene gwa kulondoola engeri ekitongole kya URA gyekikungaanyamu emisolo mu bantu.
President Museven alonze David Kalemera okukulembera akakiiko kano, n’okubeera omuwabuzi we ku ensonga z’emisolo.
President Museveni agambye nti akakiiko kagenda kuyamba okuziba ebituli ebibaddewo mu kitongole kya URA,nti ng’abakulu babadde bakola emirimu nga bwebagala.
President Museveni wateereddewo akakiiko kano, nga gyebuvuddeko yategeeza nga bwewaliwo abakungu mu URA ababwebweena enguzi, sso nga n’ebitongole ebimu omusolo birangirirako mitoono ekigotanya enkunganya yaago.
Kinajukirwa nti mu mwaka 2023 president Museveni aliko akakungu mu URA beyayimiriza ku mirimu nti baali benyigira mu bulyi bwenguzi.
Akakiiko Kano kegase ku bukiiko obulala bwaze asaawo okulwanyisa enguzi n’okutereeza emirimu omuli Anti Corruption Unit, State House Investors protection Unit, Presidential taskforce on Land Matters n’obukiiko obulala.