President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa atadde omukono ku baggo ly’etteeka erirungamya ekirime ky’emmwanyi mu ggwanga erya National Coffee Amendment Bill 2024.
Etteeka lino liggyewo ekitongole ky’emmwanyi ki Uganda Coffee Development Authority, obuvunanyizibwa bwekibadde kikola butwaliddwa mu ministry y’ebyobulimi n’obulunzi
Ebbago lino parliament yaliyisa gyebuvuddeko, wakati mu babaka okwesika ebitogi ng’abamu baali baliwakanya ate abalala baali baliwagira, era lyayisibwa ababaka booludda oluvuganya government bafulumye parliament.
Ekiwandiiko ekivudde mu Maka gobwa president kiraze nti omukulembeze weggwanga etteeka lino yalitaddeko omukono ng’ennaku zomwezi 20 December,2024.#