President Yoweri Kaguta Museveni agambye nti wakukolera wamu n’akakiiko kabakulembeze akassibwawo okwogerezeganya ne president wa Russia Vladmir Putin ne munne owa Ukraine Volodymyr Zelensky, bayimirize okulwanagana kwebalimu okututte obulamu bw’abantu nabandi okusigala nga babundabunda.
President Museveni y’omu kubakulembeze bamawanga abaalondebwa ku kakiiko akassibwawo okuzza emirembe mu Ukraine okuli abakulembeze owa.South Africa, Zambia, Comoros Islands saako abakungu ba government abatali bamu okuva munsi za Africa.
President Museveni agambye nti bakulwana bwezizingirire okulaba nga amawanga gano gaddamu okubukalamu emirembe, nti kuba masaale mukuliikiriza amawanga ga Africa naddala mu by’amafuta n’ebirala.
President Museven abadde mu kibuga Saint Petersburg e Russia ku bugenyi obwennaku 2, ng’asisinkanye akakiiko akali ku ddimo ly’okuzzawo enkolagana ennungi wakati wa Ukraine ne Russia abawezezza omwaka mulamba n’ekitundu mga balwanagana.
Mu kusooka president Museveni asoose kwetaba mukuggulawo olukungaana lw’ebyefuna olwa Russia –Africa economic and Humanitarian Forum, era asinzidde munno nasaba bakulembeze banne mu Africa okussa amaanyi ku by’obulimi ebivaamu ensimbi.
Museveni agambye nti ensi za Africa zikyalina ebizibu by’emmere, kwekusaba bakulembeze banne okusalira awamu amagezi okunogera ekizibu ekyo eddala, n’okukolera awamu okutumbula obutale bw’ebyamaguzi byabannansi.
President ku lugendo luno yatambudde n’omuwabuzi we ku nsonga ez’enkizo Gen Muhoozi Kainerugaba, minister w’ensonga z’amawanga amalala Gen Jeje Odongo, minister w’ebyokwerinda Vicent Bamulangaki Ssempijja, nabakungu abalala bangi.#