President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa alabudde abajjaasi obutetaantala kwenyigira mu bulyi bwanguzi, nti kubanga kizingamya emirimu gyeggwanga.
Museveni agambye nti obulyi bw’enguzi butandise okusensera ebitongole by’okwerinda ebyenjawulo, wadde nga enguzi ebadde emanyiddwa mu bitongole bya government ebirala, era nti bakola butawera okugirwanyisa.
Okwogera bino abadde ku ttendekero ly’amagye erya National Defence College e Ntenjeru mu district ye Buikwe, mu kutikkira bannamagye abasusse mu 18 abamaze omwaka mulamba nga batendekebwa mu bintu ebyenjawulo.
Gano ge matikkira g’ettendekero lino agasookedde ddala, ng’abajaasi 18 bebatikkiddwa oluvannyuma lwokumala omwaka mulamba nga batendekebwa.
Omudduumizi w’eggye lye ggwanga erya UPDF Gen Wilson Mbadi ategezezza nti eggye lya UPDF lirina ekigendererwa ky’okukyusa ettendekero lya National Defence College lifuuke University enabangula abajjaasi mu bintu ebyenjawulo.
Mu batikkiddwa mwemuli ne yali akulira akakiiko akalwanyisa enguzi mu Maka gwobwa president aka Anti Corruption Unit, Col Edith Nakalema era awereddwa engule eyokukola obulungi, eyaliko omwogezi wa updf Brig Flavia Byekwaso, Brig Godwin Karugaba, Brig Anthony Lukwago ,Brig David Nsiibwa ne Brig Dr Steven Kusaasira nabalala.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru