President wa Uganda Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, alagidde ministry y’ebyenguudo okwanguyiriza enteekateeka z’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka etandike okukola, kisobozese government okugoba abasaabaliza ebyamaguzi ebizito ku makubo agaziviirako okwonooneka amangu.
President Museveni okwogera bino abadde atongoza emmeeri eyatuumiddwa MT Elgon egenda okugattibwa ku meeri ya MT Kabaka Mutebi, ezookusaabaza amafuta okuva e Kisumu -Eldorate Kenya okutuuka e Bujiri – Bukasa -Entebbe mu Uganda, nga gayitira ku mazzi g’ennyanja Nalubaale.
President Museveni agambye nti akooye okulaba ebimmotoka ebinene ku makubo, ebireeta omugotteko nookwonoona enguudo, n’agamba nti emmaali esaabazibwa erina kuyisibwa ku mazzi, eggali y’omukka oba mu bbanga.
President Museveni era annyonyodde nti yalagidde nti omudumu ogusaabaza amafuta oguzimbibwa gukolebwe okutuuka ku nsalo ya Uganda ne Congo.
Minister weebyamasanyalaze, Dr. Ruth Nankabirwa Ssentamu, awanjagidde kampuni ezikola ku mafuta okusala ebisale by’amafuta kubanga amakubo agakendeeza ku nsaasaanya gongedde okutereezebwa.
Agmbye nti gavumenti eteekateeka n’okuzimba etterekero ly’amafuta eritereka liita obukadde 252 mu district ye Mpigi okwongereza ku tterekero eriri e Jinja eritereka liita obukadde 30.
Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa kampuni ya Mahathi Infra Uganda Ltd, Steven Mahinda, asinzidde wano naawanjagira gavumenti okubataasa okwogeraganye nabakulu mu ggwanga lya Kenya, ku mazzi emmeeri kweyita e Kisumu, okujisobozesa okutikka amafuta agajisuubirwamu agaweza liita obukadde 4 nekitundu okuva ku bukadde 4 bwereeta kaakano.
Minister weebyenguudo, Gen Edwaed Katumba Wamala, asabye kampuni zobwananyini ne bamusiga nsimbi okwongera okusiga ensimbi mu ntambula y’okumazzi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis