Abakulembeze b’ebitongole ebirungamya eby’empuliziganya munsi yonna basisinkanye mu Uganda, okukubaganya ebirowoozo.ku ngeri y’okukozesaamu enkola za Tekinologiya eyeyongera okukula, okukulaakulanya amawanga gabwe mu kifo ky’okugatabangula.
Basisinkanye mu lutuula lwabwe olumanyiddwa nga International Telecommunications Union global symposium for regulators oluyindira ku Speke Resort e Munyonyo.
Omukulembeze w’Eggwanga Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, alabudde nti awatali kulambika mikutu gya mpuliziganya kimala ku nkozesa ya tekinologiya, kyandisuula ensi eno mu buzibu, naasaba nti tekinologiya akyuukakyuuka buli ssaawa aleme kukozesebwa kutabangula mirembe munsi eno.
President Museveni agamba nti awatali kukola kulungamizibwa kumala ku nkozesa ya tekinologiya, ebyenfuna wamu n’Ebyobufuzi biyinza okutabangulwa, naasaba tekinologiya aleme kweyambisibwa kutabangula nsi eteese mu kiseera kino.
Abadde aggulawo olukungaana luno, ng’akiikiriddwa omumyuukawe Jessica Alupo.
Asabye abaddukanya emikutu gy’ebyempuliziganya okusaawo enkola eziyambako okulungamya enkozesa ya tekinologiya w’ebyempuliziganya aleme kukozesebwa mu kutabangula emirembe, wabula okuyambako mu kusitula ebyenfuna.
Ssaabawandiisi w’Omukago gw’ekibiina ky’Amawanga amagatte ogutaba ebyempuliziganya, Doreen Bogdan Martin, ategeezezza nti ku amawanga 193 gannamukago, amawanga ebitundu 85% tegannaba kufuna kulungamizibwa ku nkozesa ya tekinologiya omuggya amanyiddwa nga Artificial Intelligence, kyagambye nti kyandiviirako enkozesa ya tekinologiya embi okweyongera.
Minister wa tekinologiya n’Okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi, agambye nti government ng’eyita mu kitongole ekirungamya eby’empuliziganya ki UCC, yakunyweeza amateeka agafuga ebikolebwa ku mitimbagano, okulaba nga tekinologiya tayingirira ddembe lya buntu nakulitabangula.
Ssenkulu wekitongole ekirungamya ebyempuliziganya mu Uganda ki Uganda Communications Commission George William Nyombi Thembo, asabye wabeewo enkolagana wakati w’Ebitongole ebirungamya eby’empuliziganya mu Mawanga gannamukago 193, kisobozese abantu okukozesa tekinologiya awatali kutya.
Okusinziira ku Alipoota y’Ekibiina ky’Amawanga amagatte ekirungamya ebyempuliziganya, abantu obuwumbi 2.6 tebannayungibwa ku nkozesa ya tekinologiya w’ebyempuliziganya, olwokutya ebizibu ebiggiriko, n’Obutamanya nkozesa ya tekinologiya evaamu ensimbi.
Abetabye mu lutuula luno bakkiriziganyizza okubeera nga bawangana amagezi ku nsonga ezibalukawo, eziva ku nkozesa ya tekinologiya.
Bisakiddwa: Kato Denis