President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa ayanukudde bank yensi yonna eya wold bank, eyayimirizza okuwola Uganda ensimbi, olw’okuyisa etteeka eriwera omukwano n’obufumbo obwekikula ekimu.
Museveni agambye nti Uganda yakukulaakulana nebwenaana teyeewoze mu world Bank.
Museveni mu bubaka bwayiwandiise obwanukula bank eno ,bwatadde ku kibanja kye ekya tweeter nga n’obulala abukulubuuse ku lupapula nakabayiro, agambye nti ensimbi nnyingi ezibadde zewolebwa mu bank eno nga zaali tezisaanidde, nti era kyekyamuwaliriza okusaawo obukwakkulizo nti okwewola kwonna y’alina kkusooka okukwekennenya.
Akinogaanyizza nti okutwaliza awamu ensimbi ezewolebwa mu kiseera kino ntono, so ng’ate enkulaakulana egenda mu maaso.
Museveni agambye nti bank yensi yonna okuyimiriza okuwola Uganda tekisaanidde kwewanisa bannansi mitima, kubanga Uganda erina amakubo amalala gesuubira okwesigamako okufunamu ensimbi okuddukanya eggwanga.
Anokoddeyo amafuta aganaatera okusimibwa mu mwaka 2025, amakolero, ebyobulimi n’ebirala.
President Museveni agambye nti etteeka eryayisibwa eriwera omuze gw’obufumbo obw’ekikula ekimu ,nti tekutunuulira kukangavvula bantu abeenyigira mu mukwano guno olw’ekyo kyebali, wabula litunuulira nnyo abatumbuza omuze guno nga baguyingizaamu abalala naddala abaana abato.
Asuubizza nti Uganda netegefu okuddamu okwetegereza etteeka eryo singa wabaawo avaayo n’obujulizi obulambulukufu nti lirimu ebitatambula bulungi.
Akinogaanyizza nti nti wabula Uganda tegenda kuttattana saako okuva ku buwangwa n’ennono zaayo olw’ensimbi.
Museveni agambye nti Uganda teyetaaga muntu yenna okugibuulira ku ngeri y’okugonjoolamu ebizibu byayo, ebizibu Uganda byerina esobola bulungi okubyekolerako .
Wabula president agambye nti government ye yakwogerezeganya n’abakulu mu World bank bongere okutegeera omulamwa gwa Uganda, ekkoligo erissiddwawo ligonjoolwe.#