Police ye Gomba ekubye omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga bw’ebadde egumbulula abatuuze ababadde baagala okutta omuntu, entabwe evudde ku mutuuze munnabwe eyatemuddwa mu bukambwe.
Bino byonna bibaddewo ku ssaawa 3 ezenkya yaleero nga 04 June,2025 mu LC eye Bulwadda West mu muluka gwe Bulwadda mu ggombolola ye Kabulassoke mu district ye Gomba.
Abatuuze ababadde abakambwe bakutte omusajja ategeerekeseeko erinnya limu kyokka erya Musisi ow’emyaka 43, nga bamulumiriza nti aliko by’amanyi kukutemulwa kwa mugandawe Lukenge Fred 45 abadde Omusuubuzi w’emmwanyi mu kitundu.
Omugenzi Lukenge Fred yatemuddwa muntiisa, nga baamutidde mu musirigwe ogw’emmwaanyi n’oluvannyuma abaamusse nebamusibako bbulooka mu kiwato nebamusuula mu kidiba ky’amazzi.
Ekikwasizza Musisi kwekumusanga n’essimu y’omugenzi mugandawe ng’ate wabaddewo n’ebintu ebyogerera ku muwala w’omugenzi nga birumiriza Musisi nti yeeyapanze olukwe lw’okutemula mugandawe.
Oluvannyuma lwa Musisi ebigambo okumukalira ku matama, abatuuze batandise okumukuba okutuusa police ennawunyi okuva e Kanoni bwetuuse ku kyalo nekuba omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga, okutuusa lwemuggye ku bantu.
Police ng’emaze okutwaala Musisi, abatuuze ababadde abakambwe bakkidde ennyumba ye nebagisuula ku ttaka.
Wabula, olunaku lw’eggulo, wakati mu mukolo og’okusabira n’okuziika Omugenzi Lukenge Fred, ebyeewunyisa byasaanikidde ekyalo ekyo ekye Bulwadda, muganda w’omugenzi nga ye Lukenge Mukasa owemyaka 45 naye bweyatondose okuva mu katebe keyabadde atuddemu naafa.
Abakungubazi baasoose kulowooza nti Omugenzi yabadde aliko ttamiiro kyokka bageenze okwekanga nga yafudde dda.
Oluvannyuma, ebigambibwa okuba omuzimu gw’omugenzi Lukenge Fred, byakutte muwala w’omugenzi omukulu ng’omugenzi awakanya ekyokumuziika nga tebasoose kumuggyamu ssente ez’ebinusu nezempapula abatemu nti zebaamusonsese mukamwa.
Ssentebe w’abavubuka mu muluka gwe Bulwadda Gomba Muyomba Elemia
annyonyodde CBS nti baasoose kubiyita byakusaaga okutuusa abaabadde bagezaako okusitula ssanduuke bagende baziike bweyabalemeredde okusitula, kwekuyita omusawo w’ekinnansi okuva e Bulo mu Butambala nakola ku mufu emikolo.
Lukenge Fred eyabadde owokuziika ku ssaawa 10 ezakawungeezi yaziikiddwa nga zigenda kuwera essaawa bbiri ez’ekiro.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick