Bya Issah Kimbugwe
Emikisa gya club ya Police FC egyóbutasalibwako mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League season eno, gyongedde okukeewa bweremaganye ne Villa Jogo Salongo 0 – 0 olwaleero.
Omupiira guno guzanyiddwa mu kisaawe e Lugogo.
Police esigadde mu kifo kya 14 nóbubonero 25 okuva mu mipiira 27.
Kino kitegeeza nti Police FC eri mu bifo 3 ebisembayo ebirina okusalibwako kunkomerero ya season.
Police fc kati esigazaayo emipiira 3 gyokka okuggalawo liigi.
Wabula ne Villa Jogo ebyayo tebinatereera kuba eri mu kifo kya 11 nóbubonero 29 okuva mu mipiira 27, nga eri waggulu wóbutasalibwako obubonero 4 bwokka.
Omupiira omulala oguzanyiddwa, Busoga United ekubye Wakiso Giants goolo 2-1 e Jinja.
Werutukidde olwaleero nga tiimu ezisigadde zirwanirira bifo na butasalwako, olwa Vipers FC okuba nga yalangirirwa dda ku bwanantamegwa bwa season eno, yadde ng’ekyabuzaayo emipiira 4.