Police etandise omuyiggo ku basomesa abalabiddwako mu katambi akasasanidde emitimbagano nga bakuba omuyizi emiggo emiyitirivu ekyalese abantu nga bewunaaganya.
Waliwo abasomesa abalabiddwako mu katambi mu district ye Ntungamo nga baliiko omuyizi gwebakuba emiggo nga bakozesa waya,ekintu police kyegamba nti kimenya amateeka.
Omwogezi wa police mu gwanga Rusoke Kituuma asinzidde mu lukuηaana lwa bannamawulire ku Kitebe Kya police e Naggulu, nalabula abasomesa obutakemebwa kukuba bayizi mu ngeri etali ya buvunaanyizibwa.
Kituuma agambye nti abasomesa be Ntungamo abaakwatiddwa ku katambi nga bakuba omuyizi banoonyezebwa era bwebanakwatibwa bakuvunanibwa mu mbuga z’amateeka.