
Abakambwe bano bus ya Link namba UBG 423 G bagiyimirizza mu kitoogo kya Mpamujugu ng’eyingira ekibuga Mityana ku ssaawa munaana ezeekiro ebadde eva Bundibugyo.
Ayogerera police mu bendobendo lya Wamala Racheal Kawala agambye nti abasaabaze ababadde mu bus eno bakoze sitatimenti ku police y’e Mityana, nebategeeza nti abazigu babadde 10 nga balina emmundu,ennyondo n’emiggo.
Mu bbanga lya mwezi gumu gwokka kampuni ya Link Bus efunye ebizibu ebiwerako.
Waliwo Bus ebadde yakafuna akabenje omwafiira abantu 20 mu bitundu bye Fort Portal, Bus endala nekwata omuliro e Wakaliga Nateete, saako neeno ababbi b’e mmundu gyebanyaguludde.