Police egambye nti egenda kukola okunonyereza ku mumyuka wa w’ekibiina ekitaba bannauganda ababeera mu America ki Uganda North American Association, Bukenya Charles Muvawala agambibwa okuwambibwa nabuzibwawo okumala ennaku eziweerako.
Kigambibwa nti Muvaawala yawambibwa nga 5 March,2025 okuva e Nankulanye mu Kampala ku saawa nga musanvu ez’ekiro era natwalibwa mu kiffo ekitategerekeka.
Oluvannyuma lw’ennaku 2 Muvawala yazzeemu okulabika ng’aliko ebinnuubule ku mubiri, nga kigambibwa nti yasuuliddwa mu district ye Buliisa.
Omwogezi wa police mu ggwanga Rusoke Kituuma abadde ku kitebe kya police e Nagguru n’ategeeza nti amawulire gano baagafuna, okuva ku dereva wa Muvaawala nti awambiddwa, era mukwekenenya camera enkessi, zaalaga nga Muvawala alinnya boda boda gyebataamanya gyeyamutwala, okuddamu okuwulira nti yawambiddwa.
Kituuma agamba nti bagenda kunoonyereza ku nsonga eno, era naasaba Muvawala okubatuukirira abawe amawulire kwebayinza okutandikira okunoonyereza kwabwe mu butongole.
Kinajukirwa nti ono siyemuntu asoose okuwambibwa mungeri ezitategereka bannauganda abawerako bazze babuzibwawo nebatwalibwa mu mmotoka ekika kya Drone, oluusi nabamu tebataddamu kulabikako eri family zabwe.