Police etaasizza omusajja ategerekese nga Agaba Benjamin agenze n’akadomola k’amafuta neyekumako omuliro naatuuntumuka, okumpi n’omulyango oguyingira mu parliament.
Yekumyeko omuliro nga zikunukkiriza okuwera essaawa 4 ezokumakya ga 26 February,2025.
Wabula abasirikale ba police abakuuma parliament banguye mu bwangu nebaleeta ebicupa by’amazzi nebamuyiira nga tanaffa.
Okusinziira ku Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire, Agaba addusiddwa mu ddwaliro e Kiruddu era atandise okujjanjabwa.
Oweyesigire agambye nti batandise okunoonyereza ku bikwata ku musajja ono.
Wabula kigambibwa nti Agaba Benjamin nga tanekumako muliro aliko ebigambo byabadde ayogera nga ategeeza nga bwatayambiddwa government n’ekibiina kye ekya NRM, olwebintu bye ebyayononebwa olw’ebyobufuzzi.
Abadde alumiriza nti abaddenga agenda ku kitebe kya NRM ku Kyadondo road wabula talina kalungi keyaggyayo nti nga y’ensonga emusindikirizza okwekumako omuliro.
Wabula omwogezi wa NRM Emmanuel Ddombo agambye nti omusajja ono babadde tebamumanyi era ng’ensonga ze nazo babadde tebaziwulirangako, kyokka nti bagenda kwongera okumunoonyerezaako bamanye ebimukwatako okuviira ddala wansi mu bakulembeze abamutwala.
Ddombo mu ngeri yeemu avumiridde enkola y’okwekalakaasa mu ngeri y’okwekumako omuliro n’obutalya mmere, nti enkola ezo sizaakigunjufu.
Bisakiddwa: Edithie Nabagereka