Eyaliko president wa FDC era omukulembeze wékisinde kya Peoples Front For Transition Rtd Col. Dr. Kizza Besigye asiibye yeggalidde mu mmotoka ye olunaku lulamba, oluvannyuma lwa police okumusuulira emisanvu nemwetoloola ng’emukugira okugenda mu kibuga Kampala.
Besigye abadde agenda mu Kampala kwekalakaasa ng’avumirira ebbeeyi y’ebyamaguzi erinnya buli lukya, government netabaako kyekolawo.
Besigye yamusaliddeko mu kabuga ke Kasangati ngava mu maka ge,neyetooloza mmotoka ye zi mmamba ezikuba omukka ogubalagala, naye kwekusalawo okweggalira mu mmotoka.
Police okutuuka kunzikiriganya okuleka Besigye okudda awaka we ng’obudde buwungedde, era gabadde maanyi gábabaka ba parliament abékibiina kya FDC abagenze e Kasangati nebogerezeganya ne Police.
Besigye bwakirizidwa okudda awaka, abatuuze basigadde bavumirira ebikolwa bya Police ebyókutulugunya Besigye, ate ng’ensonga gyayogerako nabo bajilaba ebanyigiriza buli kimu kirinnye ebbeeyi.
Wabula Besigye olumaze okutuusibwa mu maka ge e Kasangati agambye nti tagenda kupondooka okutuusa nga government yakuno ewulidde eddoboozi lyábantu nebaako kyekola ku bbeeyi y’ebintu.