Police erinnye eggere mu lukungaana lwa bannabyabufuzi abavuganya government mu Kawempe ababadde bategese olukungaana olwókwesondamu ensimbi okuzaawo eddwaliro lyómubaka Sseggirinya Muhammad eryagalwa gyebuvudeko olwókubulwa ensimbi eziriddukanya.
Olukungaana luno lubadde lutegekeddwa mu katale kóku Kalerwe mu Kampala, era police n’eyiibwa mu bungi neyoola ababadde mu ntegeka zólukungaana luno neyoleramu nabamu kubabadde balwetabyeko.
Wabaddewo embeera eyóbunkenke nga police eyoola abantu bano,wakati mu kuwakanyizibwa abasuubuzi mu katale ko ku Kalerwe, nga bagamba nti ensonga gyebasondera ensimbi eyamba bantu bonna.
Alex Luswa Luwemba omuyambi wómubaka Sseggirinya Muhammad mu kwogerako ne cbs nga tanakwatibwa, agambye nti Police bagitegeezaako, wabula kikwasa ennaku okuba nti ezze neebalemesa enteekateeka zabwe.
Cbs bwetuukiridde omwogezi wa police mu Kampala némiriraano Patrick Onyango ku mbeera ebadde ku Kalerwe, agambye nti essaawa yonna bagenda kufulumya alipoota ekoleddwa abasirikale ababadde mu kikwekweto kino.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge