Police e Kabalagala mu Kampala eri ku muyiggo gw’omutuuze w’e Kisugu Jeniffer Namubiru, ng’emulanga kugezaako kutta baana beyezaalira basatu.
Kigambibwa olunaku lw’eggulo omukazi ono yasibidde abaana be mu nnyumba mw’abadde asula n’agikumako omuliro, nga kubaddeko ow’emyaka 2, 6 ne 7.
Abaana bano amabuggye bataasiddwa abatuuze oluvannyuma lwokuwulira enduulu nga balaajana.
Kigambibwa nti Namubiru aludde ng’alina obutakkaanya ne bba Moses Bululu, era bazze beenyigira mu butabanguko mu maka nebabudaabudibwa abakulembeze.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire agambye nti Namubiru akadde konna wakutwaalibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe, oluvannyuma lwa police okukola ku fayiro y’omusango gwe.
Bisakiddwa: Kato Denis
.