Police ye Kasangati ku njegooyego zÉkibuga Kampala ekutte abantu 4 abagambibwa okwenyigira mu kubba Pikipiki nÓkuzikyuusa enamba, olwo nebazitunda mu bitundu byÉggwanga ebyenjawulo.
Abakwate abaludde ebbanga nga balondoolwa babadde bawangaalira mu bitundu bye Wampewo mu Wakiso.
Kuliko Walusimbi Asuman nnyini Garage esangiddwamu pikipiki enzibe, Mulalizi Ismail, Kayiru Yekosofat agambibwa okubba Pikipiki wamu ne Ssemanda Junior.
Mu kikwekweto kino pikipiki kika kya TVS namba UFR 309G eyali yabbibwa ku police ye Kanyanya ezuuliddwa ezuuliddwa mu garage ya Walusimbi, songa pikipiki endala, UEO 178G, UEB 674D, UDU 453M, UEB 348K nga zonna kika kya Bajaj Boxer ne pikipiki endala Bajaj Boxer emu empya nga teriiko namba.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala némiriraano Luke Oweyesigire agambye nti obubbi bwa pikipiki bukyali waggulu, nga buli lunaku kyenkana police efuna omusango ogukwata ku bubbi bwa pikipiki.
Police egamba nti mu Kampala ebitundu omusiinga okutemebwa pikipiki enzibe kuliko Katwe, Ndeeba ne Kawempe, ng’abazibba batunda mu sipeeya.
Bisakiddwa: Kato Denis