Police e Mpigi ekutte abacongo 23 abagambibwa okuba nti baayingira mu Uganda nga tebalina bisaanyizo.
Abakwate bali 23 bagiddwa mu tawuni ye Buwama ne Mpigi.
Akuliddemu ekikwekweto kino OC Supretendant mu kitundu kya Katonga Magid Ekaliimu alabudde bannauganda obutamala gakozesa bantu bebatamanyi gyebava.
Agambye nti bateekeddwa okusooka okubasaba endagamuntu nga tebanabawa mirimu, nti kubanga waliwo abagwiira abaayingira Uganda mu bumenyi bw’amateeka nebatandika okukola,era nti basaba ne sente ntono ezireetera abajozesa obutafaayo ku nsonga endala.
Bisakiddwa: Yoweri Musisi