Police mu bendobendo lya Bukedi North ne district ye Pallisa ekutte abantu 4 kuliko omuyizi w’essomero n’omujaasi, ku bigambibwa nti bebaali mu lukwe lw’okuwamba n’okubuzaawo omuyizi olwo nebakanda abantu be kantanyi w’ensimbi.
Abakwate ye; Pte Aguwa Justine Andrew omujaasi akolera mu nkambi y’e Ruhengeri, Okanya Emma, Okiria Constant, ne Imoit Anna Florence.
Kigambibwa nti nga 8 August,2023 abakwate baazinduukiriza omuyizi Aguti Harriet Vick bweyali ava ku ssomero nebamuwamba.
Obujulizi bulaga nti muyizi munne omulenzi Okiria Constant yeyamukwata n’amuggalira mu nnyumba ya mwannyina, olwo nebakanda abazadde b’omuwala ensimbi nti baleme okumutta!
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti ku maliiri ga 9 August, abawambi baakaka omuwala okwogera ne nnyina ku ssimu mbu aweereze ssente bamuyiimbule.
Wabula abazadde baddukira ku police eyasitukiramu n’etandika omuyiggo ogwagituusa mu kifo omwana ono weyali aggaliddwa nebamununula.
Police erina n’ebizibiti okuli ka baasitoola akajingirire, omwambe omwoji n’ebirala.
Enanga agambye nti abawambi essaawa yonna baakusimbibwa mu kkooti babitebye.

Enanga era abudde abazadde okwegendereza ennyo entambula z’abaana baabwe kubanga abantu ababi beeyongedde nti kyokka nabo nga police bakola ekisoboka okutaasa embeera eno.
Embeera y’ekiwamba bantu ezzeemu okukyaka ng’abantu abawamba bakozesa akakodyo k’okusaba bannanyini bantu ensimbi bayimbule abawambe, wabula bangi bwebalemererwa ng’abantu baabwe battibwa!
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K